SAPPULE YA MIKAYIRI OMUTUKIRIVU
SSABAMALAYIKA
Engeri y’okusabamu sappule ya Mikayiri omutukirivu
Ssabamalayika
(Esabibwa ku sappule ey’enjawulo eya Mikayiri
Omutukirivu)
Essaala ezitandinka
Ayi Katonda, jjangu onnyambe. Ayi Mukama, yanguwa
okunnyamba.
Ekitiibwa kibe ekya Patri, ...
[ Soma Kitaffe ali mu ggulu... emu ne Mirembe Maria
ssatu oluvannyuma lwa buli namusa wammanga ng’ossa
ekitiibwa mu Kkwaaya za Bamalayika omwenda]
1. Nga tuyita mu buwolereza bwa Mikayiri Omutukirivu
ne kwaya ya Serafimu , Mukama atusanyize
okubugujja n’omuliro ogw’okwagala
okutuukiridde.Amiina.
2. Nga tuyita mu buwolereza bwa Mikayiri Omutukirivu
ne kwaya ya Kerubimu ,Mukama atusaanyize okufuna
enneema twesammule embeera y’ekibi tweyunire
ekkubo ettuufu mu bukristu .Amiina.
3. Nga tuyita mu buwolereza bwa Mikayiri Omutukirivu
ne kwaya y’Abannamulonda, tusaba Mukama
abunduggule mu mitima gyaffe omwoyo ogw’amazima
n’obwetoowaze .Amiina.
4. Nga tuyita mu buwolereza bwa Mikayiri Omutukirivu
ne kwaya y’Abafuzi, Mukama atuwe eneema okufuga
amaddu g’omubiri n’okwewangula mu ngeri yonna
ey’obukaba obuyinze.Amiina.
5. Nga tuyita mu buwolereza bwa Mikayiri Omutukirivu e
kwaya y’Abakayakana mu mpisa ennungi , tusaba
Mukama atutalize obubi bwonna n’obutatuleka kugwa
mu bikemo. Amiina.
6. Nga tuyita mu buwolereza bwa Mikayiri Omutukirivu
ne kwaya y’Abobuyinza, tusaba Mukama okutujuna
n’okukuuma emyoyo gyaffe gireme kuggwa mu
mitego n’ebikemo bya sitaani.Amiina.
7. Nga tuyita mu buwolereza bwa Mikayiri Omutukirivu
ne kwaya y’Abakungu ab’omu Ggulu,tusaba Katonda
ajjuze emyoyo gyaffe omwoyo ogujjudde empisa
ennungi ey’obuwulize. Amiina.
8. Nga tuyita mu buwolereza bwa Mikayiri Omutukirivu
wamu ne kwaya ya Basabamalayika, tusaba Mukama
atuwe okulemerako mu kukkiriza kwaffe era ne mu
bikolwa ebirungi kitusobozese okwewangulira
ekitiibwa mu kifo eky’okwesiima. Amiina.
9. Nga tuyita mu buwolereza bwa Mikayiri Omutukirivu
wamu ne kwaya ya Bamalayika, tusaba Mukama atuwe
obukuumi bwabwe mu bulamu buno obuggwawo ne
mu bulamu obw’ekitiibwa ekitaggwawo.Amiina.
[Soma Kitaffe ali mu ggulu emu ng’ossa
ekitiibwa mu buli omu ku Bamalayika bano
abakulu: Mikayiri Omutukirivu, Gabulyeri
Omutukirivu, Rafaeli Omutukirivu ne Malayika
waffe Omukuumi.]
Essaala ezimaliriza:
Ayi omulangira ow’ekitiibwa Mikayiri Omutukirivu,
omukulu era omuduumizi w’eggye ery’omu ggulu,
omukuumi w’emyoyo, omuwanguzi w’emyoyo
gy’abajeemu, omuweereza mu nnyumba ya Kabaka
ow’obwakatonda era omukulembeze waffe eyesiimibwa,
ggwe ayakayakana n’obulungi n’empisa ennungi
ezisukkulumye ku muntu, tusumulule mu bubi bwona, ffe
abakyukira gyoli n’obwesige otusobozesa olw’obukuumi
bwo obw’ekisa okwongera okuweereza Katonda
n’obwesigwa buli lunaku.
Tusabire, Ayi ggwe Mikayiri Omutukirivu ow’ekitiibwa,
Omulangira w’Eklezia ya Yezu Kristu,
Tusaanire okufuna by’atusuubiza.
Ayi Katonda Omuyinza w’abuli kantu ggwe ataggwawo, gwe
olw’okubeera obulungi bwo n’obusaasizi bwo
olw’okulokola abantu bonna,walonda Mikayiri omutukirivu
ssabamalayika Omulangira w’Eklezia Yo asukkulumye mu
kitiibwa, tulokole okuva mu balabe baffe, wabulewo yadde
omulabe waffe omu bwati atukabasanya ku ssaawa
eyakazigizigi ey’okufa kwaffe , wabula tukumbire wamu
naye nga twegiriisiza mu maaso go gwe ow’ekitiibwa
eky’omu Ggulu. Kino tukikusaba nga tuyita mu bisaanyizo
bya Yezu Kristu Mukama waffe.Amiina.
Amatendo ga Mikayiri Omutukirivu
Sabamalayika
Ayi Mukama, tusaasire...
Ayi Kristu, tusaasire...
Ayi Mukama, tusaasire...
Ayi Kristu, tuwulire...
Ayi Kristu, tuwe...
Patri ow’omuggulu Katonda, *tusaasire.*
Omwana, Omununuzi w’ensi Katonda, *tusaasire*
Mwoyo Omutukirivu Katonda, omugabi w’ obulamu,
*tusaasire*.
Trinita omutukirivu, Katonda omu, *tusaasire*
Maria Omutukirivu, kabaka wa Bamalayika, *tusabire.*
Mikayiri Omutukirivu, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, ekifo ekinene eky’amagezi ga
Katonda, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, omwegayirizi asinga ow’Ekigambo
kya Katonda, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, Katonda gwe yatikkira engule
ey’ekitiibwa n’obuyinza, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, Omulangira w’eggye ery’omu ggulu
asinga amaanyi, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, omutindo gwa Trinita Omutukirivu,
*tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, omukuumi w’Eggulu, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, omulungamya era omubudaabuda
w’Abantu ba Katonda, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, obulungi n’obugumu bw’Eklezia
enamazi, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, ekitiibwa n’essanyu ly’Eklezia
Omuwanguzi, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, ekitangaala kya Bamalayika,
*tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, obukuumi bw’abantu abasodokisi,
*tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, amaanyi g’abo abalwanyi wansi
w’omutindo gw’Omusaalaba, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, ekitangaala n’essuubi ly’emyoyo egiri
okumpi okufa, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, omuyambi waffe gwe twekakasa,
*tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, omuyambi mu bizibu, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, omulangirizi w’omusango
ogutaggwaawo, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, omubudaabuda w’emyoyo egiyayana
mu ppuligatori, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, afuna emyoyo gy’abatwalibwa mu
ggulu oluvannyuma lw’okufa, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, omulangira waffe, *tusabire*
Mikayiri Omutukirivu, omukuumi waffe, *tusabire*
Kaliga ka Katonda, aggyawo ebibi by’ensi;
*Tusonyiwe Ayi Mukama.*
Kaliga ka Katonda, aggyawo ebibi by’ensi;
*Tuwe Ayi Mukama.*
Kaliga ka Katonda, aggyawo ebibi by’ensi;
*Tusaasire.*
Ayi Mikayiri omutukirivu sabamalayika tusaabire
Tusaanire okufuna Yezu Kristu by’atusubiza.
Twegayirire
Ayi Mukama waffe Yezu Kristu, omukisa gwo
ogutaggwaawo gututukuze, era otuwe okuyita mu
kwegayirira kwa Mikayiri omutukirivu amagezi agatuyigiriza
okutereka eky’obugagga kyaffe mu Ggulu n’okulonda
ebintu ebitaggwaawo okusinga eby’ensi eno. Ggwe
omulamu era afuga emirembe gyonna. Amiina
Essaala eri Mikayiri Omutukirivu
Ssabamalayika
Ayi Mikayiri omutuukirivu Ssabamalayika , tuzibire mu
lutalo lwe tulwana n’amasitaani. Tuyambe okuwona
emitego gya sitaani kalittima.Tusaba nga twesengereza
Katonda amufuge ,sitaani oyo ne bamalayika ababi
abasaasanye wonna mu nsi okuzikiriza emyoyo gy’abantu
ku lw’obuyinza bwa Katonda ogassukizze mu muliro
ogutazikira . Amiina.
Gabulyeri Omutukirivu twambaze amaanyi ga Katonda
Rafael omutukirivu tufukeko akazigo mu biwundu omulabe
bya tutaddeko
Mikayiri omutukirivu tutaase omulabe aleeme okutulumba.
Essaala ya Malayika wange Omukuumi
Ayi malayika wange omukuumi, Katonda gwe yajja mu kisa
kye nakuntekako okunkuuma, kkiriza okuntangaaza
n’okunkuuma,okunfuga n’okunnungamya.Amiina
Maria Omutuukirivu kabaka wa Bamalayika,
Tusabire*3